2. Katonda yanunula abaana ba Isiraeri okuva mu buddu e
Misiri lwa buyinza bwe obw’amaanyi babeere ekintu kye
ekiganzi okuweesa erinnya lye ettukuvu ekitiibwa. Bwe
baatuuka mu ddungu, Katonda yayita Musa n’amulaga ng’ali
ku lusozi ekifaananyi ekya yeekaalu ey’omu ggulu, era
n’amulagira okukola byonna ng’ekifaananyi kye yamulaze.
Yali wa kuzimba ekifo ekitukuvu ekinene ate nga kigazi,
n’ebikozesebwa eby’ebbeeyi.
ENYANJULA
3. Ensimbi zaali za kuva wa? Zaali za kuva mu bantu ba
Katonda okusinziira ku busobozi bwabwe era n’obwesigwa.
Obuwanika bulijjo nsonga ekwata ku bwesigwa. Katonda ye
yabagamba ekika ky’ebirabo kye baalina okuleeta mu
ggwanika olw’okuzimba eweema era Katonda yamanya
bulungi nti baali balina buli kintu ekyetaagisa
olw’okutuukiriza omulimo ogwo.
.
ENYANJULA
4. Okuwa tekwabanga kwa ssalira
Okuva 25:1-7 “Mukama n'agamba Musa nti ‘Babuulire
abaana ba Isiraeri bantwalire ekiweebwayo: eri buli muntu
omutima gwe gwagaza mulitwala ekiweebwayo kyange. Kino
kye kiweebwayo kye mulibatwalako: zaabu, n'effeeza,
n'ekikomo; n'olugoye lwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olumyufu,
ne bafuta, n'ebyoya by'embuzi; n'amaliba g'endiga
amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'omuti gwa
sita; amafuta g'ettabaaza, n'eby'akaloosa eby'okunyookeza;
amayinja aga onuku, n'amayinja ag'okutona, okubeera ku
kkanzu ne ku ky'omu kifuba.”
5. Okuwa tekwabanga kwa ssalira
Abaana ba Isiraeri baalina okuleeta ekiweebwayo
ekinene nga bwe batakola batyo omulimo gw’okuzimba
weema guyinza obutamalirizibwa. Abantu baalina
okuleeta ne zaabu, ffeeza, n’ekikomo okuteekawo
ebikozesebwa by’omulimo kubanga ekizimbe kyali kya
buwanana.
6. Bonna baawaayo mu kwagala era mu ssanyu:
abakulu n’abato, abasajja, n’abakazi era n’abaana
Tugambibwa nti okuzimba kw’ekifo ekitukuvu nga kugenda
mumaaso abantu abakulu era n’abato, abasajja, abakazi era
n’abaana baaleeta ebiweebwayo byabwe eri Mukama.
“Ne bajja buli muntu omutima gwe gwe gwakubiriza, era na
buli muntu omwoyo gwe gwe gwakkirizisa, ne baleeta
ekiweebwayo ekya Mukama, olw'omulimu ogw'eweema
ey'okusisinkanirangamu, n'olw'okuweereza kwayo kwonna,
n'olw'ebyambalo ebitukuvu.
7. Bonna baawaayo mu kwagala era mu ssanyu: abakulu
n’abato, abasajja, n’abakazi era n’abaana (contn’d)
Ne bajja, abasajja era n'abakazi, bonna abaalina emitima
egikkiriza, ne baleeta amapeesa, n'empeta ez'omu matu,
n'eziriko obubonero, n'amagemu, amakula gonna aga
zaabu; buli muntu eyawa ekiweebwayo ekya zaabu eri
Mukama.
Na buli muntu eyalabika ng'alina kaniki n'olugoye
olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi, n'ebyoya
by'embuzi, n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu,
n'amaliba g'eŋŋoonge, n'abireeta.
8. Bonna baawaayo mu kwagala era mu ssanyu: abakulu
n’abato, abasajja, n’abakazi era n’abaana (contn’d)
Buli muntu eyawaayo ekiweebwayo ekya ffeeza n'ekikomo
yaleeta ekiweebwayo ekya Mukama: na buli muntu
eyalabika ng'alina omuti gwa sita olw'omulimu gwonna
gwonna ogw'okuweereza, n'aguleeta.
N'abakazi bonna abaalina emitima egy'amagezi ne balanga
n'engalo zaabwe, ne baleeta bye baalanga, kaniki,
n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi.
N'abakazi bonna emitima gyabwe be gyakubiriza mu
magezi ne balanga ebyoya by'embuzi.
9. Bonna baawaayo mu kwagala era mu ssanyu: abakulu
n’abato, abasajja, n’abakazi era n’abaana (contn’d)
N'abakulu ne baleeta amayinja aga onuku, n'ag'okutona,
okubeera ku kkanzu ne ku ky'omu kifuba; n'eby'akaloosa,
n'amafuta; olw'ettabaaza, n'olw'amafuta ag'okufukako,
n'olw'obubaane obuwoomerevu.” Okuva 35:23-28.
Abantu bonna baawa n’omutima omusanyufu, abato,
n’abakulu, abakadde, abasajja, abakazi n’abaana. Omulimo
gw’okuzimba weema ne bagufuula gwabwe. Buli nkya
n’akawungeezi, ne baleetanga ebiweebwayo byabwe eri
abakulembeze.
10. Bonna baawaayo mu kwagala era mu ssanyu: abakulu
n’abato, abasajja, n’abakazi era n’abaana (contn’d)
Nga gwali mukisa munene okulaba abantu abo nga bajja
ku makya ne mu ttuntu n’ebiweebwayo ebyenjawulo
okuzimba weema okutuusa omulimo gw’okuzimba lwe
gwamalirizibwa. Nneegomba olunaku aboolugamda bonna
mu kkanisa okwetooloola divizoni yaffe eya ECD
ng’erabikiramu omwoyo omugabi mu makanisa gaabwe!
11. Buli omu yawanga mu ssanyu okusinziira ku busobozi bwe. Abo
abaabanga abaggagga nga bawa ku ebyo abagagga byebalina:
amayinja amayooyoote, amafuta ag’omuwendo ko n’obuloosa.
Abo abaalinanga ebitono nga bawa ku bye balina. Katonda
tatusaba kumuwa byatatuwanga. Yesu yasiima ekirabo kya
nnamwandu kubanga yawa eri Mukama bingi okusinga byonna.
Katonda agerageranya okuwa kwaffe nga tasinziira ku ekyo
kyetuwadde, naye ku ekyo kye twesigalizza. Ekirabo
akigerageranyiza ku kweresa okukoleddwa. Ye nsonga lwaki
yasiima ekirabo kya nnamwandu.
Baawa okusinziira ku mikisa gya Katonda
gye bafunye
12. 2 Abakkolinso 9:7 “Buli muntu akolenga nga bw'amaliridde mu
mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw'okuwalirizibwa:
kubanga Katonda ayagala oyo agaba n'essanyu.”
Baawa okusinziira ku mikisa gya Katonda
gye bafunye
13. Baawa bingi nti n’abazimbi baatuuka ne bagamba Musa agambe
abantu okulekera awo okugaba:
“Abantu baleeta bingi ebisukkiridde ennyo okumala okukola
emirimu, Mukama gye yalagira okukola”. Okuva 36:5, wagamba
nti, “Musa n'alagira, ne balangirira mu lusiisira lwonna, nti
‘Omusaja era n'omukazi alekere awo okukola nate omulimu
gwonna ogw'ekiweebwayo eky'awatukuvu.’ Abantu ne baziyizibwa
okuleeta.”
Baawanga mu bungi era mu kweresa
14. Emirundi mingi, tetutera kuwulira birango bya ngeri eyo mu
makanisa gaffe. Baaziyizibwa okuleeta ebirabo ebirala kubanga
baali baleese bingi ebukka ku byetaagibwa olw’okuzimba
awatukuvu. Ebintu bye baalina tebaabitwala ng’ebyabwe.. baali
bamativu eri Mukama olw’emikisa emingi gye yali abawadde nga
babundabundira mu Misiri ne mu kutambula kwabwe kwonna nga
bava mu buddu.
Baawanga mu bungi era mu kweresa
15. Ekyokulabirako
Russell Kamani ow’emyaka 67 egyobukulu bwe yafa mu 1994,
ekiraamo kye kyalimu ebyewuunyisa mu kugaba ebintu bye. Mu
nteekateeka ye ey’okugaba ebintu bye mwalimu obukadde bubiri
obwa ddoola bwe yawa ekibuga kya St. Louis, akawumbi akalala
kamu n’ekitundu aka ddoola ke yawa Essaza lya Illinoyisi, obusse
bwa ddoola bubiri n’ekitundu eri ekitongole ekirabirira ebibira,
era, mu kumalawo ebyali ku lukalala, Kamani n’alekawo obusse
bwa ddoola mukaaga eri gavumenti ya Amerika okusasula ku
bbanja lyayo. Ekyo kiwulikika nga okugaba okwewuunyisa, naye
waaliwo ekizibu kitono. Ekyobugagga kya Kamani kyokka kye
yalina we yafiira yali mmotoka enkadde gye yagula mu 1983.
16. Ekyokulabirako (contn’d)
Yakola ekiraamo ekirungi, kyokka temwalimu kugaba okwa ddala.
Anti yagaba by’atalina. Ebisuubizo bye tebyalimu makulu kubanga
tewaaliwo kibisemba. Okugaba okw’amazima tekusinziira ku
bungi obuweebwa naye ku mutima egiwa. (Biggiddwa mu
Ministry 127)
Ebirabo eby’okweresa eby’abaana ba Isiraeri bye baawa okuzimba
weema byalaga obungi bw’okusiima kwabwe eri emikisa gyonna
gye baafuna okuva eri Mukama ko n’okwagala kwabwe eri
omulimo gwe. Kamani yawa mu bigambo byokka naye mu
bikolwa talina kye yawa!
17. Ekyokulabirako (contn’d)
Tulina abooluganda mu kkanisa ennaku zino abawa nga Kamani.
Balangirira bulangirizi kyokka ko n’okuwa mu bigambo wabula mu
bikolwa tebaba na kye bawa. Twebaza tutya okwagala kwa
Katonda era n’emikisa gye? Tulaga omwoyo omusanyu eri
Mukama mu kugaba kwaffe? Omutima gwo gujjula okwebaza?
Abaana ba Isiraeri baatwala okugaba eri Mukama ng’omukisa era
ng’engeri y’okulagamu okusiima kwabwe eri Mukama mu nger
gye yabanunulamu okuva mu nsi ey’obuddu. Twetaaga okulabira
ku kyokulabirako kyabwe.
18. Kyewuunyisa nti abantu bano abaali mu buddu okumala
emyaka mingi wa gye baggya ebirabo bino byonna! Katonda
yali yabakolera dda ekkubo okukola kye yabayitira okukola. Nga
tebannafuluma Misiri, baagambibwa okusaba mikwano
gyabwe ko ne baliraanwa baabwe okubawa ku bitole bya zaabu
ne ffeeza.
Katonda yasuubiza abaana ba Isiraeri nti tebalifuluma Misiri
ngalo nsa. Yabalagira okusaba ebintu ebya zaabu n’effeeza ko
n’engoye mu bigambo bino:
Baawa ku ebyo ebyali ebya Katonda
19. Okuva 3:22 “Buli mukazi alisaba muliraanwa we n'oli abeera
mu nnyumba ye, ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu
n'engoye: mulibiteeka ku batabani bammwe n'abawala
bammwe; mulinyaga Abamisiri.”
Katonda mwesigwa eri ebisuubizo bye. Abaana ba Isiraeri bwe
baasaba baliraanwa baabwe ne mikwano gyabwe ekintu
kyonna, baaweebwa byonna bye baasaba nga Katonda bwe
yabasuubiza. Ekyamazima, Katonda yakwata ku mitima
gy’Abamisiri ne bawa byonna abaana ba Isiraeri bye baabasaba.
Baawa ku ebyo ebyali ebya Katonda (contn’d)
20. Mu kitabo ky’Okuva 12:35-36, wagamba nti, “Abaana ba
Isiraeri ne bakola ng'ekigambo kya Musa; ne basaba Abamisiri
ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu, n'engoye: Mukama
n'abawa abantu okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri, ne
babawa bye baasaba. Ne banyaga Abamisiri.”
Kyewuunyisa okulaba engeri Mukama gye yakozesaamu
Abamisiri abakaafiiri okugabirira abantu be era n’eri omulimo
gwe. Katonda asobola okukozesa omuntu yenna era n’ekintu
kyonna olw’ekitiibwa kye. Jjukira mu biseera ebyekyeya Eriya
bwe yali nga yekwese, Katonda bwe yakozesa banamuŋŋoona
okutuukiriza ekigendererwa kye. Ellen G. White yagamba,
Baawa ku ebyo ebyali ebya Katonda (contn’d)
21. “Kitaffe ali mu ggulu alina amakubo nkumi na nkumi
ag’okugabiriramu abantu be nga n’okugamanya tetugamanyi.”
Ministry of Healing, p. 281.
Baganda bange ne bannyinaze, tulina okwesiga Mukama. Asobola
okumalirizaamu omulimo gwe nga tatutaddeemu oba nga
mwetuli. Tewali kirema Mukama so era tewali kisuubizo kizibu
gy’ali okukikuuma.
Baaweebwa buweebwa okuva eri Mukama n’olwekyo, baali balina
kukomyawo kitundu ku nnyingiza yaabwe mu mutima omugabi
era mu ssanyu eri Mukama. Byonna bye baalina byali bya Katonda
kubanga oyo ye yabigabira abantu be mu maaso g’Abamisiri.
Baawa ku ebyo ebyali ebya Katonda (contn’d)
22. “Byonna biva gy’oli! Kabaka Dawudi bwe yagamba era “ku
bibyo kwe tukuddiza.” Ebintu byonna bya Katonda, so si lwa
butonzi kyokka, naye n’olw’obununuzi. Emikisa gyonna
egy’obulamu buno… gituweebwa nga giriko akabonero
k’omusaalaba ogw’e Gologoosa.” (Review and Herald, Dec. 23,
1902.)
Baawa ku ebyo ebyali ebya Katonda (contn’d)
23. Ivan Omukulu eyaliwo mu Kyasa Ekyokutaano, yali musajja
mulwanyi mu nsi ya Soviet Union. Ng’omulwanyi yali musajja
mugezi era atatya. Teyalina mukazi anti yabanga mu kulwana
ebbanga lyonna. Olw’ekyo teyabanga na budde bunoonya mukazi
ow’okuwasa. Lumu yaweebwa amagezi okuwasa muwala wa kabaka
wa Buyonaani. Wabula okumuwasa, Ivan ng’alina kusooka
kubatizibwa afuuke “Omusoddookisi Omuyonaani”. Ivan yakkiriza
akakwakkulizo. Wabula, ku lunaku lw’embaga, kabaka wa
Buyonaani n’akitegeera nti baali tebayinza kubeera na kifaananyi
kya mirundi ebiri—eky’omulwanyi n’eky’Omuyonaani
Omusoddookisi. Ekkanisa nga tekkiriza baserikale batendeke
kubeera kitundu ku kkanisa.
EKYOKULABIRAKO
24. Nga balina kusooka kweyama okulekayo okuyiwanga omusaayi.
Nga tebateekwa kubeera bassi ba bantu ate era nga bammemba
mu kkanisa. Oluvannyuma lw’okuteeseganya okumala ekiseera,
obuzibu bwagonjoolwa. Ebigambo nga byogerwa, omusasedooti
yatandika okubatiza abaserikale, nga buli omu asembera waali
n’awaayo ekitala kye nga bw’akiwanise waggulu w’omutwe gwe,
olwo n’annyikibwa yenna, buli kitundu ne kibatizibwa ng’oggyeko
omukono ogulwana ogukutte ekitala. Awo wennyini we
baabatirizibwa, omukolo gw’okubatiza we gwaweerwa erinnya
eppaatiike erya “Omukono ogutaabatizibwa”. Yesu yakyogera lwatu
nti, “Tewali muntu ayinza kuweereza baami babiri.” Matayo 6:24).
Olina omukono ogutali mubatize? Weweereddeyo ddala wenna eri
Katonda?
EKYOKULABIRAKO (contn’d)
25. Nga kifaananyi kirungi nnyo ekiraga Obukristaayo ennaku zino!
Ensawo mmeka ezitali mbatize wano olwaleero?
Nsaba Mukama atuyambe tweweeyo fenna eri Yesu tugabenga
n’essanyu okuwagira omulimu gwe. Amiina.
EKYOKULABIRAKO (contn’d)