Successfully reported this slideshow.
We use your LinkedIn profile and activity data to personalize ads and to show you more relevant ads. You can change your ad preferences anytime.
Tukutule Olujegere Lw’enfaana Y’omu Nnyama Y’embizzi
Omwana aba n’enfaana
ezikulira munda mu ye.
Enfaana: Enfaana y’omu nn...
Upcoming SlideShare
Loading in …5
×

Tukutule Olujegere Lw’enfaana Y’omu Nnyama Y’embizzi (Let's break the pork tapeworm cycle)

761 views

Published on

This is the Luganda version of a poster ‘Let's break the pork tapeworm cycle’ produced by ILRI and Medical Research Council through the International Cysticercosis Coordination Center in 2005. http://www.slideshare.net/ILRI/lets-break-the-pork-tapeworm-cycle
Translation from English by Anatoli Kirigwajjo.

Published in: Technology
  • Be the first to comment

Tukutule Olujegere Lw’enfaana Y’omu Nnyama Y’embizzi (Let's break the pork tapeworm cycle)

  1. 1. Tukutule Olujegere Lw’enfaana Y’omu Nnyama Y’embizzi Omwana aba n’enfaana ezikulira munda mu ye. Enfaana: Enfaana y’omu nnyama y’embizzi (Taenia solium) ebeera mu byenda ebitono. Erya emmere yaffe era n’eweza obuwanvu bwa mmita 3 (futi 10). Obutulututtu bw’enfaana: obubeera ku bwongo, ku maaso oba ku binywa buviirako okugwa ensimbu, amaaso okuziba, okufa obusiwa oba ebinywa, omutwe ogubobba, okutabuka omutwe n’oluusi okufa. Amagi g’enfaana nkumi na nkumi gafulumira mu bubi. Obutundutundu bw’enfaana oyinza n’okubulaba mu bubi. Obutundu buno buta amagi enkumi n’enkumi mu bitundu obubi webube bugudde. Amagi g’enfaana gasaasaana mu bwangu ddala; era gagenda mu ttaka ne mu mazzi. Gatuuka ne ku ngalo zaffe, ku mmere ne mu mazzi ge tunywa. Kibbi nnyo okumira eggi ly’enfaana. Amagi g’enfaana gakula ne gafuuka obutulututtu ku bwongo, ku maaso ne ku binywa ne buviirako abantu okugwa ensimbu, amaaso okuziba, okufa obusiwa oba ebinywa, omutwe ogubobba, okutabuka omutwe n’oluusi okufa. Embizzi zirwala enfaana. Embizzi ezitaayaaya zirwala enfaana bwe zirya obubi bwabantu obulimu amagi g’enfaana. Ennyama y’embizzi eriko obutulututtu. Amagi gakula ne gafuuka obutulututtu ne bubeera mu nnyama y’embizzi. Abantu enfaana bazifunira mu kulya nnyama erimu obutulututtu buno nga teyidde bulungi. 1. Bulijjo kozesanga kaabuyonjo Gendanga mu kaabuyonjo osobole okulemesa amagi g’enfaana okuyingira mu mbizzi n’abantu abalala. 2. Naabaanga mu ngalo Amagi g’enfaana masirikitu nnyo okugalaba n’amaaso ate nga gasaasaana mu bwangu obuyitirivu. Awo nno naabaanga mu ngalo ne sabbuuni wamu n’amazzi amayonjo buli lw’ova mu kaabuyonjo era nga tonnakwata ku kyakulya. Ebibala n’enva endiirwa byonzenga bitukule. Amazzi ag’okunywa gafumbenga. 3. Genda awajjanjabirwa Bw’oba osuubira okuba n’enfaana, genda awajjanjabira ofune mangu ddala obujjanjabi. Eddagala eritta ebiwuka bw’ olimira lijja kutta enfaana era likuyambe obutazisaasaanya mu mbizzi na bantu balala. 4. Toleka mbizzi kutaayaaya Embizzi zo zikuumire mu kisibo oba ng’ozisibye ku nkondo zireme kulya bubi bwa bantu obulimu amagi g’enfaana. 5. Ennyama gikebere oba teriimu kabi Ennyama gyeekebejje okakase nga teriiko butulututtu. Ennyama eriko obutulututtu teteekwa kuliibwa wadde okutundibwa. 6. Ennyama gifumbe eggye bulungi Kirungu obutatuukako kabi okusinga okwejjusa. Ennyama y’embizzi eteekwa okufumbibwa n’eggyiira ddala n’eba nga n’emitendera gino 6 emyangu OLUJE GERE LW’ENFAANA Y’OMU NNYAMA Y’EMBIZ ZI USAIDFROM THE AMERICAN PEOPLE This document is licensed for use under a Creative Commons Attribution-Noncommercial-Share Alike 3.0 Unported License August 2014 This is a Luganda version of a poster ‘Let's break the pork tapeworm cycle’ produced by ILRI and Medical Research Council through the International Cysticercosis Coordination Center in 2005. Translation from English by Anatoli Kirigwajjo

×